Ekkanisa ya Uganda etaddewo olwa nga 01 August, olukiiko lw’abalabirizi okulonderako omulabirizi we Luweero omulala.
Mu butongole ekanisa esazizzaamu okulondebwa kwa Canon Godfrey Kasana Ssemakula ku ky’Omulabirizi w’e Luweero, era ng’adde alindiridde kutuuzibwa nga 16 July,2023 okudda mu bigere bya Rt. Rev Eridard Kironde Nsubuga.
Omuwandiisi omukulu ow’ekkanisa ya Uganda, Rev. Canon William Ongeng, agambye nti olukiiko lw’Abalabirizi lwasazeewo enkyukakyuka eno, oluvannyuma lw’okufuna obukakafu obutaliiko kubuusabuusa nti enneeyisa y’omukulu eyali alondeddwa eriko akamogo akakontana n’enjigiriza y’ekkanisa.
Abalabirizi (House of Bishops) baatudde ku Lwokusatu nga 28 June 2023 ku Kabalega Resort Hotel mu Hoima nebasalawo.
Mu mbeera eno Abalabirizi balagidde abakulira akikiiko akateekateeka okulonda omulabirizi mu Bulabirizi, okutandika ku nteekateeka endala ez’okufuna abagwana mu kifo kino batunulwemu.
Baweereddwa omwezi gumu okutuuka nga 31 July 2023 ng’abasunsuddwa.
Omulabirizi Eridard Nsubuga mu butongole ajja kuwummula nga 9 July lwanaaweza emyaka 65 egiwummulirwako ng’Ekkanisa bwerambika, obuyinza abuzze eri Ssaabalabirizi.
Omulabirizi omuggya alirondebwa nga 1 August 2023 atuuzibwe nga 6 August mu kkanisa lutikko ey’omutukuvu Makko e Luweero.
Canon William Ongeng ku lw’ekkanisa ya Uganda asabye abakkiriza okusigala nga bakkakkamu, kyokka beemalire nnyo mu kusabira Obulabirizi bw’e Luweero nga bwebalindirira amawulire ag’essanyu.
Mu kiseera kino abalabirizi bakyatalaaga kitundu kye Bunyoro okulaba emirimu egikolebwa mu nteekateeka y’okusima amafuta agaliyo.
Kigambibwa nti mu May 2023, waliwo abakristaayo abeesowolayo okuwakanya okulondebwa kwa Can. Kasana ku ky’obulabirizi, nga balumiriza nti tasaanidde nti kubanga yabaligira mu bufumbo obutukuvu.
Can.Godfrey Kasana Ssemakula yalondebwa olukiiko lw’abalabirizi olwatuula e Kisoro mu bulabirizi bwe Muhabura nga 03 April,2023.#