Abatuuze ku kyalo Gangu C e Masajja mu gombolola ya Makindye Ssabagabo mu Wakiso baguddemu entiisa bwebagudde ku mulambo gwa mutuuze munaabwe ng’attiddwa.
Kigambibwa nti omugenzi abadde asikaali mu kifo ekimu mu kitundu, naye babadde bamaze olunaku lulamba nga talabikako, basanze mufu.
Abatuuze bagamba nti obutemu bususse mu kitundu kyabwe,wabadde wakayita enaku 3 zokka nga era bakagwa ku mulambo gw’omwana ow’emyaka 13 ng’attiddwa
Abatuuze bawanjagidde abe byokwerinda ababayambeko okwongera ku bukuumi naddala obudde obw’ekiro.
Omulambo gujiddwawo police negutwalibwa mu ggwanika lye ddwaliro e Mulago nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso
Bisakiddwa: Lukenge Sharif