Police mu Kampala n’emiriraano etandise okunoonyereza ku kikangabwa ekigudde mu bitundu bye Mbuya abantu ba 3 bwebakubiddwa amasasi nebafiirawo.
Abakubiddwa amasasi kubaddeko Noella Zella abadde emyuka atwala akulira eby’embeera z’abakozi mu kampuni ya Ultimate Security Company ,Bwampata Salez naye abadde akolera kampuni yeemu, ne Mwaawa Richard attiddwa abaddukirize, nga kigambibwa nti asoose kukuba banne ababiri amasasi naabatta.
Ekikangabwa kino kiguddewo ku kampuni ya Ultimate Security Company esangibwa mu bitundu bye Mbuya –Bugolobi mu division ye Nakawa mu Kampala.
Kigambibwa nti abadde omukumi wa Kampuni eno Mwaawa Richard balabidde awo ng’akuba Noella Zella amasasi, olwo naddako okusindirira abalala ababaddewo, negakwasa Bwampata Salez naye naamutta.
Kigambibwa nti mu kavuvungano akabaddewo Mwaawa agiddwako emmundu naye nebamukuba amasasi agamuttiddewo.
Okusinzira ku police emirambo gyabano gitwaliddwa mu ddwaliro enkulu e Mulago ng’okunonyereza bwekugenda maaso, sso nga ne muddu ekozeseddwa okukola obutemu buno police egitutte.
Amyuka Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agambye nti police tenamanya kitanudde Richard kukola ttemu kutta banne.#