Dr. Kamugisha Godfrey Mwesigwa omusawo w’ebisolo mu kitongole kya KCCA,asangiddwa ng’afiiridde ku siteeringi y’emmotoka gy’abadde avuga.
Asangiddwa mu mmotoka kika kya benz No.UBJ 241 Y, okumpi ne Akamwesi shopping Complex e Kanyanya ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gayaza.
Amyuka Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire ategezezza nti Dr Kamugisha abadde akolera ku faamu KCCA ey’e Kyanja, era kati batandise okunoonyereza ekimuviiriddeko okufiira mu mmotoka.
Oweyisigire agambye nti omubiri gw’omugenzi gutwaliddwa mu ggwanga e Mulago.