Omukago ogutaba ebibiina ebirina ababaka mu parliament ogwa Interparty Organisation for Dialogue (IPOD) n’olukiiko lwaba Ssaabawandiisi b’ebibiina ebiri mu mukago guno, batandise okwetegereza okasaba kw’ekibiina ki NUP okwegatta ku IPOD.
Kyaddaaki NUP yawandiikidde Omukago gwa IPOD ng’esaba okugwegattako, oluvanyuma lw’ebbanga ng’abakulembeze b’ekibiina kino bakyogera lunye nti kikafuuwe okwegatta ku IPOD nti era betegefu okufiirwa ensimbi zakyo.
Ssenkulu wa IPOD Dr. Lawrence Sserwambala agambye nti ebbaluwa NUP gyeyawandiise ekitebe kyomukago gwa IPOd kyagifunye, era wakugyanukula ng’abalambika omutendera ogulina okuddako.
Dr.Lawrence Sserwambala agambye nti NUP bwenaaba etuukiriza obukwakkulizo obulambikiddwa mu ndagaano , IPOD yakwaniriza NUP nemikono ebiri.
Gyebuvuddeko akakiiko k’ebyokulonda kaagabira ebibiina byobufuzi ebirina endagaano ne IPOd ensimbi obuwumbi 10, ekibiina ki NUP tekyaafuna olw’obutaba na ndagaano yonna ne IPOD ng’etteeka erifuga ebibiina byobufuzi bweriragira.
NUP buli mwaka efuna obuwumbi 5 n’obukadde 700 okuva eri akakiiko kebyokulonda, nga zino ekibiina zekibadde kyoolekedde okufiirwa singa tekiteeka Mukono ku ndagaano ne IPOD.
Ku nsimbi akakiiko kebyokulonda zekaagaba wiiki ewedde, ensimbi akawumbi 1 n’obukadde 400 zezikyasikattidde ku account z’akakiiko kebyokulonda nga zaali zirina kugenda eri NUP wabula olwobutaba nendagaano, NUP yammibwa ensimbi zino.
Ssaabawandiisi wa UPC Fred Ebil agambye nti engeri gyekiri kiseera kyakunoonya kalulu, olukiiko lwaba Ssaabawandiisi b’ebibiina bya IPOD lugenda kutuula mu bwangu okwetegereza okusaba Kwa NUP okwegatta ku IPOD.
Okusinziira ku mitendera egiyitibwamu ekibiina okwegatta ku IPOD, ekibiina bwekisaba olukiiko lwaba Ssaabawandiisi b’ebibiina lutuula okutunula mu kusaba okwo, oluvannyuma nekusindikibwa eri olukiiko lw’abakulembeze b’ebibiina olumanyiddwa nga IPOD summit.
Obukwakkulizo bwonna bwebutuukirizibwa , IPOD summit etuula neyingiza mu butongole president wekibiina ekyo mu IPOD
Mu kiseera kino President wa DP Nobert Mao bwebatalima kambugu ne NUP saako Ssabawandiisi wa DP Gerald Siranda bebakulembera IPOD.
Wabula wadde biri bityo, NUP ekyawakanya ennoongosereza ezaakolebwa parliament ezirambika enkola ya IPOD, ng’egamba nti ebibiina by’obufuzi tebyasooka kwebuzibwako, era omusango guli mu kooti etaputa ssemateeka.#












