Omuddusi w’embiro munnayuganda Rebbeca Cheptegei afudde , olw’ebisago byeyafuna ku bigambibwa nti eyali muganzi we Nickson Ndiema yamuyiira amafuta ga petulooli n’amukumako omuliro.
Afiiridde mu ddwaliro lya Moi Teaching and Referral Hospital (MTRH) gy’abadde yaddusibwa okufuna obujanjabi.
Cheptegei yakolebwako obulumbaganyi mu makaaga ge agasangibwa mu Endebess mu Kenya, bweyali yakadda okuva mu Bufalansa gyeyetabira mu mpaka za Olympics 2024, nga yakiikirira Uganda.
Rebecca Cheptegei afiiridde ku myaka 33 egy’obukulu, yazaalibwa mu 1991, naafa mu 2024#