Government ya Kenya yeegasse ku Uganda okukungubagira omuddusi Rebecca Chepetegei eyafa mu ngeri eyékikangabwa gyebuvuddeko, eyali muganzi we Dickson Ndiema bwe yamukumako omuliro nga bafunye obutakkaanya mu maka gabwe.
Rebecca Cheptegei aziikiddwa leero nga 14 September, 2024 mu bitiibwa byámagye ebijjuvu ewabwe e Sebei mu district yé Bukwo.
Emikolo gikulembeddwamu amagye géggwanga aga UPDF g’abadde aweereza, era gyetabiddwako enkumi nénkumi zábantu okubadde Bannayuganda ne Bannakenya, okwo gattako bannabyamizannyo abénjawulo.
Rebecca Cheptegei baafuna obutakkaanya ne bba Dickson Ndiema wiiki nga 2 eziyise, bba kwe kumuyiira amafuta aga petulooli námukumako omuliro, kyokka naye Ndiema abadde munnansi wa Kenya omuliro tegwamutaliza gwamwokya, era yafudde ku ntandikwa ya wiiki eno.
Minister wa Kenya owébyemizannyo nábavubuka Onesmus Kipchumba Murkomeni yákulembeddemu ekibinja kyábakungu okuva mu government ya Kenya, era mu kiwandiiko ekyénjawulo kyáyanjulidde abakungubazi, akoowodde Bannayuganda ne Bannakenya bakomye okusirikiranga ebyo ebiba bitagenda bulungi wakati wábaagalana.
Agambye nti kya mutawaana nnyo nti abantu bamanya nti abafumbo ababiri balina obutakkaanya era ngábaagalana abo akadde konna bayinza okwetuusaako obulabe, kyokka embeera eyo ne bagisirikira.
Minister omubeezi owébyemizannyo mu Uganda ayogedde ku lwa government, yeebazizza government ya Kenya okukolagana néya Uganda mu kaseera akókunyolwa, nágamba nti Uganda teyafunye kiruyi ku Kenya olwa munnansi waayo okutta omuddusi wa Uganda, kubanga eyakikola mumenyi wa mateeka, era kino tekijja kujjulula nkolagana yámawanga gombi.
Bannabyamizannyo okubadde Steven Khisa nga naye muddusi wa Uganda, ku lwa baddusi banne abé Sebei yeegayiridde government ya Uganda ebalowoozeeko, ebazimbire ebisaawe mwe batendekerwa.
Agamba nti olwóbutabeera na bisaawe ebyo yénsonga ebaviirako okukemebwa ne baddukira ku muliraano e Kenya, ekyaviirako munnaabwe omugenzi Cheptegei Rebecca okufunirayo ebizibu.#