Kkooti ejulirwamu egobye omusango gw’ebyokulonda ogubadde guwakanya obuwanguzi bwa munnakibiina kya NUP Wakayima Musoke Nsereko, ng’omubaka wa Nansana municipality.
Kooti egambye nti eyaloopa omusango Hamis Walusimbi Musoke yaguloopa kikeerezi.
Abalamuzi 3 aba kkooti ejulirwamu abakulemberwamu amyuka Ssaabalamuzi Richard Buteera, banenyezza Walusimbi Musoke okuwaaba omusango guno ngennaku 14 ezirambikiddwa mu mateeka ziweddeko.
Walusimbi abadde ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Wakayima.
Amulumiriza nti tayina buyigirize busaanidde, wabula kkooti omusango egugobye era nemulagira okuliyirira Wakayima ensimbi zonna zaasaasanyirizza mu musango guno.
Mu September wa 2021, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Henrietta Wolayo, omusango guno yagugoba oluvannyuma lwokukizuula nti Munna FDC Hamis Walusimbi, teyalina bujulizi obukakasa nti Wakayima tayina buyigirize busaanidde.
Walusimbi abadde akiikiriddwa Abbas Bukenya ne Kabuye Twaha Haruna.
Wakayima abadde akiikiriddwa Richard Latigo .
Mu kalulu akaakubwa mu 2021,Wakayima yawangula n’obululu 67, 872 ate Walusimbi nga yeyaddirira eyasemba mulwokaano, nafuna obululu 744.
Kinajjukirwa nti mu kalulu ka 2016, Wakayima Musoke yoomu yali awangudde akalulu, wabula Robert Ssebunnya námukuba mu mbuga zámateeka olwóbutabeera mu alijesita yábalonzi békitundu ekyo, nóbutaba na buyigirize bumala obwa senior eyómukaaga. Kyategeerekeka nti satifikeeti ya S.6 gyeyaleeta yaliko mannya ga Musoke Hannington so nga bweyali yesimbawo yakozesa Wkayima Musoke Nsereko.
Wadde nga Ssebunnya eyawaaba omusango, mu Kalulu yakwata ekifo kyakusatu, kooti yalagira yaba adda mu kifo kyómubaka wa Nansana municipality.