Omubaka wa Mityana South Richard Lumu, ayongedde ennyingo endala mu bbago ly’etteeka lyabaga, eryagala okuleeta ennoongosereza mu tteeka erifuga entambuza y’emirimu mu parliament, erya Administration of Parliaments Act.
Ennyingo zino, zeyongera kwezo zeyasooka okwanjulira eggwanga, zayagala zikolebwe mu tteeka lino, omuli ababaka bonna ab’oludda oluvuganya government mu parliament okwetaba mu kulonda akulira oludda oluvuganya government mu palament, okuyita mu kumukubako akalulu.
Ennyingo omubaka Richard Lumu zayongedde mu bbago lino, mulimu okukendeeza ku misoso emingi, egiyitibwaamu okugoba ba commissioner ba parliament, nti n’emikono egibagoba gibeerenga 100 sso ssi mikono egisoba mu 170.
Endala kuliko ba minisita ku ludda oluvuganya government okukubwamu ttooki akabondo akawamu, akababaka booludda oluvuganya government
Akutte ekyokubiri mu kalulu k’eggwanga lyonna akobwa president,akiikenga butereevu mu parliament.
Omubaka Lumu era ayagala omumyuka wa sipiika wa parliament okubanga alondebwa okuva ku ludda oluvuganya government mu parliament.
Wabula bannakibiina kya Forum for Democratic Change ku ludda lwe Najanankumbi, batabukidde omubaka wa Mityana South Lumu Richard, olw’enongosereza gyeyaleesa , gyebagamba nti yakusuula amaanyi ge bibiina ebivuganya government.
Mu lukungaana lwabanna mawulire olutudde ku kitebe kya FDC e Najanankumbi, omwogezi w’ekibiina kya FDC John Kikonyogo ,agambye nti singa enoongosereza eno efuulibwa etteeka, banna Uganda bamanye nti oludda oluvuganya lusaanyizidwawo.
Kikonyogo agambye nti ababaka ba parliament baleete ensonga ezikwata ku banna Uganda, bave mu mpalana z’abantu sekinoomu.
Kikonyogo agambye nti singa kino kiyita ebibiina bigenda kunafuwa nga tebikyagamba ku bakulembeze baabyo bebisindika mu parliament.