Abatuuze b’e Kabigi mu town council ye Butenga e Bukomansimbi baguddemu entiisa lwa mutuuze munnabwe eyali abakulembeddemu okusalawo ku by’obukulembeze bw’essomero ly’obusiraamu erya Kabigi Taquwah Islamic school bwasangiddwa munjuye nga yafudde.
Mawanda Abdu Jaba yoomu kubabadde bateeka sente musomero lya Kabigi Taquwah eryakola amawulire omwaka oguwedde 2022 abayizi bwebaamala ebbanga nga tebasoma batudde waka olwenkayana z’obwananyini ku ssomero lino, ezaavirako okuyiwa omusaayi nerisigala nga likuumwa magye.
Okusinziira ku muyambi w’omugenzi nga ye Abdu Salam Adinani Ssembuya,agambye nti bafunye ssimu ng’obudde busasaana okuva mu baana b’omugenzi nga bababikira nti kitaabwe basanze afudde.
Kabigi Taquwah Islamic primary school lirudde mu nkayana z’obwanannyini bw’ettaka ng’omugenzi kati Mawanda Abdu Jaba abadde afuna obuyambi okuva mubawarabu n’addukanya essomero eryo kulw’abasiraamu, kyokka aludde ng’awakanyizibwa ekiwayi ekikulirwa Sheik Haruna Jemba.
Ensonga z’essomero lino zatwalibwa mu kooti wabula kigambibwa nti ebiragiro bya kooti ebibadde bifulumizibwa bibadde tebiteekebwa mu nkola, era ebiwayi byombi nebisigala nga birwanagana nebyetusaako obulabe buli ntandikwa ya term.
Kumpi buli RDC abaddeko e Bukomansimbi kwossa obukulembeze obulonde balozezza ku ntalo z’essomero ly’e Kabigi, nga RDC eyasooka e Bukomansimbi Ssalongo Mukasa Kityo mukisanja kya hajji Katerega Muhammad entalo zesomero eryo yazireka mu bbanga,olwo obukulembeze bwamuna NUP Fred Nyenje Kayiira neba RDC okuli Teopisita Lule Ssenkungu,Sharon Ankunda, George Bakunda,David Nkojo Asaba n’abalala, entalo z’esomero eryo nabo bazisanze era bazirozezaako.
Mawanda Abu Jaba w’afiiridde ng’entalo za Kabigi Taquwah Islamic school tezigwanga.
Kooti e Masaka omwaka oguweDde yamuwa olukusa oluddukanya esomero eryo mu butongole,kyoka ate kooti yemu olukusa era n’eruwa Sheik Haruna Jemba.
Akalembereza akaabaddewo term ewedde Mawanda Abdu Jaba abadde yaddako ku bbali nga yaddayo mu kooti okwekubira enduulu olw’ebiragiro bya kooti ebitakwatagana, nga wafiiridde abadde alinze kumanya omutuufu alina okuddukanya essomero eryo.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior