Government kyaddaaki emaliririzza okuddabiriza olutindo lwa Karuma,era nge lugguddwawo olwaleero nga 20 December,2024.
Olutindo luno lumaze emyezi 3 nga luddaabirizibwa
Minister w’ebyentambula n’enguudo Gen Edward Katumba Wamala agambye nti bakkirizzaako emmotoka entono ne baasi zokka okuyita ku lutindo luno.

Emmotoka zirukululana zzo minister Katumba Wamala agambye nti zakukkirizibwa zisigale nga zikozesa enguudo zezibadde zikozesa mu kiseera olutindo luno bwerubadde nga luggale.
Wasooseewo okusaba okwenjawulo okukulembeddwamu bannaddiini, nebawoonga olutindo lwe Karuma eri Katonda.#