Olutalo lubindabinda wakati wa Amerika ne China mu byenfuna; China eddizza Amerika Omuliro, bw’erangiridde nti nayo eyongezza omusolo ku byamaguzi ebiva mu Amerika, okutuuka ku bitundu 84%.
Amerika yeyasoose okulinnyisa omusolo ku byamaguzi bya China okutuuka ku bitundu 104%, nga kino Amerika yabadde ekangavvula China olw’omusolo gwa bitundu 34% gwe yatadde ku byamaguzi bya Amerika.
Wabula China okulangirira omusolo ogwo, kyava ku Amerika eyasooka okubongeza omusolo wiiki ewedde.
Wano President wa America Donald Trump ayongedde okuzikubamu nezaaka, omusolo ogw’ebitundu 104% gwe yatadde ku China agambye nti yabadde asaagamu busaazi, kati asazeewo gulinnye okutuuka ku bitundu 125%.
Trump nga ayita ku mukutu gweyeetandikirawo oguyitibwa Truth Social; agambye nti olw’eggume China lyeyolesezza tagenda kugikkiriza kuzannyira ku Amerika, omusolo omuggya gwa 125% gulina okutandikirawo kati kati.
Mu bubaka bwe wabula; Trump addiddemu eri amawanga 75 agafubye okwegayirira Amerika egasonyiwe omusolo, agawadde akalembereza ka nnaku 90 nga bwe yeetegereza okusaba kwago.
Bibadde bikyali bityo; n’omukago gwa Bulaaya gulangiridde emisolo gye gutadde ku bimu ku byamaguzi ebiva mu Amerika, ng’omusolo guno gwakutandika okuwoozebwa nga 15 April,2025.#