Wakiso district egenda kuzimbirwa eddongoserezo lya Kazambi, e Namulonge Busukuma mu Nansana Municipality.
Eddoongosezo lino ligenda kuwemmenta obuwumbi bwa shillings obusoba mu 10, nga lyabaweereddwa eggwanga lya South Korea, okuyita mu kitongole kyayo ekya Korean Environmental and Technology Institute.
Ministry y’ebyamazzi n’obutonde bw’ensi mu ggwanga ebadde mu nsisinkano n’abakulembeze ba Wakiso district,okuttaanya ku ngeri omulimu guno gyegugenda okukwatibwamu.
Eng. Dagalas Davis Kiggundu, ategezezza nti eddoongoserezo lino balirinamu essuubi ddene okuyamba okuwa bannauganda emirimu, okulongoosa empitambi nebajamu ebintu ebyomugaso nga ebijimusa nebirala ngate babikolera ku nsimbi ntono ddala.
Abakugu ba South Korea nga bakulembeddwamu Eng.Jinwon Choi bagambye nti eddoongosezo lya kazambi lino lisuubirwa okumalirizibwa mu bbanga lya myezi 18.
Bakakasizza ministry ne district nti omulimu gwebagenda okukola gwakuyamba okufunamu ebijimusa ate babigabire abatuuze.
Bagamba nti bagenda kuteekawo emmotoka ezinuuna kazambi mu kabuyonjo ezisoba mu 60, wabula nga district yakusasulangayo akasente akatono ddala, okusasula abakozi mu kkolero eryo.
Omumyuka wa ssentebe wa Wakiso district Betinah Nantege, abasabye enteekateeka eno ereme kukolebwa mu ngeri ya gadibe ngalye, ekiyinza okufuuka eky’obulabe eri abantu.
Eng. Isaac Galabuzi akulira eby’amazzi mu Wakiso, agambye nti omulimu guno ogugenda okukwasibwa aba Korea gwali gwatandikadda emyaka nga 6 egiyise, nti naye nga wabaddewo okusooka okunoonyereza okumala, okukakasa nti ssigwabulabe.
Ministry oluvanyuma lw’okwekeneenya omulimu ogugenda okukolebwa abakugu ba S.Korea neba Engineer ba district, bagambye nti tebaagala kuwulira byekwaso nga wabaddewo ekizibu kyonna.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe Mulyabyuma