Abakulira amasomero ga secondary batandise okusunsula abayizi abagenda okusoma S.5, mu nteekateeka eno eyindira ku kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo.
Amasomero agakunukkiriza mu 4,000 gegeetabye mu nteekateeka eno egenda okumala ennaku 2.
Amasomero agamu gongezza ku bubonero kwebayingirizaako abayizi.
Basunsulwa mu bayizi emitwalo 329,939 abaayita ebigezo bya UCE omwaka oguwedde 2022.
3mitwalo 46,667 baayitira mu daala erisooka, emitwalo 76,745 abaayitira mu ddaala ery’okubiri.
Emitwalo 88,690 baayitira mu ly’akusatu n’emitwalo 117,837 abaayitira mu ly’okuna bonna beetaga okuweebwa ebifo, mu A level naamasomo geemikono.
Ate abayizi omutwalo 15,000 abaagwa ebigezo bino bbo balina kuddamu S.4.
Amasomero agasinga gakomye ku bubonero 18, amalala gakomye ku 16, nga bagamba nti abayizi bangi baakola bulungi ebibuuzo mu 2022.
Ismael Mulindwa, akulira ebisomesebwa mu masomero mu ministry y’eby’enjigiriza asabye abazadde obutagwamu suubi singa abaana babwe babeera tebasunsuddwa masomero manene, nti wabula bagezeeko ne ku malala omuli n’ag’ebyemikono.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyenjigiriza, Ketty Lamaro awanjagidde ab’amasomero okuteekesa mu nkola ekyobutongoza ebisale naabasaba n’okuyingiza abaana mu masomo gebanasobola okutwala mu maaso nokubafunira emirimu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis