Omulangira Dr.Hajji Kassim Nakibinge Kakungulu asabye governent okwongera amaanyi mu byobulamu n’Obujjanjabi obusokerwaako.
Agambye nti eby’obulamu ebisookerwako bikwata ku bulamu bw’abantu bangi ddala, nga n’olwekyo nabyo biria okussibwamu ekitiibwa.
Abadde ku mukolo gw’Okusoma Dduwa maama we Omugenzi Sarah Namusisi ogubadde mu maka g’Omulangira e Kibuli.
Omukolo guno gwetabye abalangira n’abambejja bangi.
Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnaalinya Dorothy Nassolo, Omulangira David Kintu Wasajja, Omulangira Chrispin Jjunju Kiweewa,Omulangira Daudi Namugala babadewo
Omuzaana Omugenzi Hajjat Sarah Namusisi Kakungulu nga Maama w’Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu, yava mu bulamu bw’ensi mu mwezi gwa January, 2025
Minister w’ebyenguudo Gen.Katumba Wamala ne minister w’ebibiina by’obwegassi Hajji Haruna Kyeyune Kasolo ne bannabyabufuzi abalala bangi betabye ku mukolo guno.
General Katumba Wamala, asinzidde wano naasaba Bannabyabufuzi n’Abavubuka okukuuma emirembe nga eggwanga lirindiridde akalulu ka bonna omwaka ogujja 2026.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek.Prof. hajji Twaha Kawaase Kigongo, ne sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Ahmed Lwasa nabo betabye ku dduwa eno.
Owek. Twaha Kawaase Kigongo yebazizza Omulangira Nakibinge olw’okussa ekitiibwa mu bakulembeze naddala ab’ennono.
Akulira Ddaawa Sheikh Yasin Kiweewa nga yakulembeddemu okubuulira ku Dduwa alaze obukulu bwa maama mu nsi, era naasaba abantu okufaayo ennyo eri bakadde babwe.#