Abaakwasibwa omulimu gw’okutambuza amaguta okuva mu Uganda mu district ye Hoima okutuuka mu bitundu bye Tanga mu Tanzania basuubizza nti mu bbanga lya myezi 7 okuva kati bakutandika okusima amafuta ogunaagatambuza.
Amyuka akulira kampuni ya East Africa crude oil pipeline eyawebwa omulimu guno John Bosco Habumugisha agambye nti enteekateeka y’okuliyirira bannyini ttaka n’ebibanja omunaayita omudumu gw’amafuta gutuuse ku bitundu 90 ku buli 10.
Mu kiseera kino bakyasisinkana abakulembeze abenjawulo mu district 7 gyegugenda okuyita nga babangulwa ku nteekateeka eno.#