Ssentebe w’omukago ogutaba enzikiriza mu ggwanga ogwa Inter-Religious Council of Uganda, (IRCU), era Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, alabudde abazadde n’abalala abakwatibwako ensonga, ku kizibu kyokusoosowaza omwana omuwala nebasuulirira omwana omulenzi.
Ssabalabirizi Kazimba agamba nti kino kyabulabe ddala era kisaanide okuddamu okwetegerezebwa, nti kuba kyandiviirako ebiseera bya Uganda ebyomumaaso okukaluba eri abaana abalenzi.
Alipoota eyakoleddwa ekitongole kyebibalo nemiwendo ekwata ku bungi bwabantu mu ggwanga ekya UBOS, yalaze nti abakyala naabawala kaakano bebasinga mu mirimu ejivaamu ensimbi, wadde ng’abasajja bakyasingako mu kuyingiza ensimbi.
Alipoota y’ekitongole kyebibalo yalaze nti abantu obukadde 25, 494,490 byebitundu 57% bali mu myaka ejikola okutandikira ku myaka 15.
Abakyala baweza obukadde 14, 18 1,219 ate abaami bali obukadde 11, 313,217.
Abantu abakozi abasinga obungi bali mu Buganda naddala mu kibuga ekikulu Kampala, nga kubantu abawangaliramu ebitundu 69% bakola, ate mu bendobendo lye Karamoja yewasinga abantu abatakola nga kumpi ebitundu 50% ku bawangaalirayo tebakola.
Kino kyongedde okulaga nti abakyala boongedde okwolesa amaanyi mu bintu ebyenjawulo, era nga ne alipoota mu byenjigiriza ziraga nti abawala bakira ku balenzi mu buli kimu ensangi zino.
Ssaabalabirizi Kazimba agamba nti kituufu okuwagira omwana omuwala nokumutumbula mu buli kimu, naye nga n’omulenzi tasuuliriddwa.
Ssaabalabirizi era alagidde abaweereza mu kkanisa ya Uganda, okwongera okussa amaanyi ku mwana omulenzi aleme okulekebwa ebbali, nti kuba bebagenda okulambika ebiseera by’eggwanga Uganda ebyomumaaso nga bali nabakyala abateekeddwateekeddwa obulungi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis