Omukulembeze w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu awabudde abatuuze be Kawempe okweggyamu okutya, okuteekebwawo ab’ebyokwerinda naddala mukiseera eky’okunoonya akalulu ke Kawempe akokujjuza ekifo ekyalimu omubaka Ssegirinya Muhammad eyava mu bulamu bwensi eno.
Kakuyege w’okunoonya akalulu ka Kawempe North azze yetobekamu vvaawompitewo ng’abebyokwerinda bakuba abantu emiggo n’omukka ogubalagala, ekivumiriddwa ennyo abantu ab’ebiti ebyenjawulo, omuli bannabyabufuzi, bannaddiini n’abalala, era nga ab’ebibiina by’obwannakyewa abalwanirira obwenkanya baatuuka n’okusaba akakiiko k’eby’okulonda nti wakiri akalulu kayimirizibwe, mu kifo ky’okulomya abantu.
Ku lunaku lw’abakyala olukuzibwa buli nga 08 March, Ekibiina kya NUP ne NRM bakubye enkuηaana ezikyasiinze okubeera ennene era nga zonna zibadde zaamirembe ekibadde kyaludde okulabika.
Aba NUP abakulmbeddwamu president wabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu babadde ku kisaawe kyewa Mbogo, baleese abayimbi okubadde King Saha, Roden Y, Kabako, nabalala okukuyegera Nalukoola.
NRM bakulembeddwamu Ssaabaminister Robinah Nabbanja babadde mu Bwaise 1 nga banoonyeza Faridah Nambi akalulu.
Ssaabaminister yennyamidde olw’emyala gyasanze mu kitundu egiteeka obulamu bw’abantu mu katyabaga, saako obutabaamu ssomero lya government erya secondary, n’agamba nti bannakawempe betaaga omuntu anatuusa eddoboozi lyabwe mu government.
Abantu 10 bebavuganya mu kalulu kano okuli abavudde mu bibiina n’abazze ku bwannamunigina.
Kakuyege akomekkerezebwa ku Tuesday nga 11 March, ate okulonda kwa nga 13 March,2025.