Leero ennaku z’omwezi 11 July, ensi yonna ekuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku bungi bw’abantu bonna abali ku nsi.
Okusinziira ku kukunoonyereza okwakolebwa ekibiina ky’amawanga amagatte, kiteeberezebwa nti ng’ennaku z’omwezi 15 November,2022 ensi lweyaweza abantu obuwumbi 8.
China yesinga abantu abangi bali mu kawumbi kalamba n’obukadde 456.
India eri mu kyakubiri akawumbi k’abantu kalamba n’obukadde 421.
USA abantu obukadde 336.
Indonesia 232.
Ku lukalu lwa ssemazinga wa Africa, Nigeria yesinga abantu abangi, nga kiteeberezebwa nti eweza abantu obukadde 222 n’omusobyo.
Uganda eri mu bantu obukadde 45 n’omusobyo, nga yakoma okubala abantu mu 2014.
Uganda esuubira okuddamu okubala abantu baayo mu August 2023, oluvannyuma lw’emyaka 10.
Ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF, omuwendo gw’abantu abato abali wansi wemyaka 18 mu Uganda guweza ebitundu 50%.
Okusinziira ku kitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya Uganda bureau of statistics, wakati wa 1969 – 2014, omuwendo gw’abantu mu Uganda gwakulira ku bitundu 25.3%, okuva ku bukadde bw’abantu 9 bweyalina mu 1969.
Mu mwaka 2040 omuwendo gw’abavubuka abato mu Uganda kiteeberezebwa nti gwakukubisaamu emirundi ebiri okuva kati.
Ekitongole ki UNICEF kisabye government okwongera amaanyi mu kutumbula embeera z’abaana abato naddala mu byenjigiriza, eby’obulamu, endiisa n’ebyemirimu mu bavubuka abeyongera obungi buli lukya.
Akulira UNICEF mu Uganda Dr Munir Safieldin asabye government yakuno obutakoowa kulwanirira baana bato nga eyita mu byensoma, ebyobulamu n’eddembe lyabwe.
Mu ngeri yeemu naasaba enkolagana wakati wa government ne bannamikago yeyongere, okwongera okulwanirira eddembe ly’abaana erityoboolwa entakera, n’okuteekerateekera ettaka obulungi, okugasa omuwendo gw’abantu abeeyongera, n’okulima emmere emala era erimu ebiriusa abantu bonna.
Wabula wadde guli gutyo, kiteeberezebwa omwaka 2080 wegunaatuukira, abantu abali mu nsi bajja kuba batuuse mu buwumbi 10 n’omusobya.#