Abakulembeze b’abavubuka mu Uganda bagamba nti enteekateeka ezizze ziteekebwawo government okusitula embeera zabwe tezibaganyudde.
Olunaku lw’abavubuka mu Uganda lukuzibwa buli nga 12 August, wabula ku mulundi guno lwayongezebwayo okutuuka nga 18 August 2023.
Emikolo emikulu giri mu district ye Kabale.
Olunaku luno lujjiddde mu kiseera ng’ensimbi obuwumbi 16 government zeyasaawo okusitula embeera z’abavubuka eza Youth Livelihood program ezikyabalemye okuzza, so nga bangi embeera zabwe tezikyuse nakamu.
Ensimbi obuwumbi 40 bwokka bwebwakanunulwa obuwumbi 130 bukyalemedde mu nteekateeka.
Ebibiina byabavubuka bingi ebyaaweebwa ensimbi zino bikyalemeddwa okuzizaayo ,olwa projects mwebaateeka ensimbi zino okuzingama..
Minsiter w’abavubuka mu ggwanga ku ludda oluvuganya government mu Parliament Francis Kabuye agambye nti obuzibu bwonna buvudde ku government okulowooza nti abavubuka erina kubawa nsimbi bbo bekulakulanye nga tesoose kubateekateeka
Kabuye gambye nti projects zonna government zezze eteekamu ensimbi okuyamba abavubuka zireetebwa ku musingi gwabyabufuzi, era nnyingi teziganyudde bavubuka okugyako ensimbi okubbibwa.
Lubega Walid omukulembeze w’abavubuka ku FDC agambye nti abavubuka abaganyuddwa mu projects zino babalibwa ku ngalo, era nti government abavubuka ezze ebatimba bbula okubakozesa okuzannya ebyobufuzi byaayo
Eyeru Jacob omukulembeze w’abavubuka mu ggwanga lyonna, agambye nti waliwo abavubuka abaganyuddwa, nti wabula obubbi bw’ensimbi obwetobeka mu projects za government bwebusinze okuzizingamya.