Olunaku lwa ba maama mu nsi yonna, lukuzibwa leero nga 08 May,buli mwaka, okujjukira n’okwefumiitiriza kwebyo ba maama byebayitamu mu kuzaala,okwola, okukuza n’okwagala abaana,amaka n’ensi yonna.
Abantu balukuza mu ngeri eyenjawulo buli omu nga bwaba ayagadde,okusiima maama we nga mulamu oba okujjukira abo abaafa.
Omukyala Anna Jarvis owe Philadephia yaasinga okujjukirwa ennyo, nti yeyaviirako olunaku luno olwa ba maama okufuuka olw’enkizo munsi yonna.
Anna Jarvis yategeka omukolo ogw’okusabira maama we mu 1907, mu kanisa ya Andrews Methodist episcopal church e Grafton West Virginia.
Mu kusaba okwo, nnyina wa Anna Jarvis yayogerwako ebintu bingi byeyakolanga ng’akyali mulamu.
Mwebyo ebyamujjukirwako kwekuba nti teyakoma ku kwagala baana be bokka, wabula yafangayo nnyo eri ba maama abalala n’abakolamu ebibiina mwebaayitanga okukola ebintu ebyabakuumanga nga basanyufu,nga balina okwagala, n’okwekuuma nga balamu.
Ensigo ezo ez’okwagala balinanga okuzisiga mu baana babwe.
Ekikolwa kya Anna Jarvis eky’okusabira nnyina kyasanyusa abantu bangi mu United of America, abantu nebatandika okwebaza ba maama babwe mu ngeri ezenjawulo n’okusabira ba maama abaafa.
Mu 1914 president Woodrow Wilson, olunaku lwa ba maama yalutongoza era nerutandika okukuzibwa mu America buli mwaka, awo nerusaasaanira ensi yonna.
Ministry evunanyizibwa ku kikula ky’abantu wano mu Uganda erabudde abazadde ku bulabe bw’okusuulirira obuvunanyizibwa bwabwe mu nkuza y’abaana obudde nebabumalira ku kunoonya ensimbi n’okwegaggawaza.
Ministry y’ekikula ky’abantu egamba nti ensangi zino abazadde obuvunanyizibwa bwokulabirira abaana babulekedde nnyo abakozi ababayambako ewaka, ekiviiriddeko abaana okukula omuwawa awatali kulungamizibwa kumala, tebalagiddwa mukwano gumala,so nga n’abazadde bakola ebikolwa eby’obukambwe ku baana.
Dr. Aggrey Kibenge, omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ekikula ky’abantu agamba nti abakyala bangi ennaku zino abasinga bajjumbidde nnyo okunoonya ssente, nebasuulawo obuvunanyizibwa bw’okulabirira abaana mu maka.
Dr Kibenge agamba nti abakyala bangi obuvunanyizibwa bwabwe mu maka obwokufuuka bamuzza nganda nabwo babusuliridde, ekiviriddeko n’obutabanguko mu maka okweyongera.
Awanjagidde abazadde abaami okwongera okukwasizaako abakyala okutereeza amaka.
Agambye nti abaami bangi balagayizza mu kutuusa ebyetaago eri amaka, olwo abakyala nebasigaza akazito konna akokunoonya sente ate n’okukuza abaana.
Abamu ku ba maama Cbs beyogeddeko banokoddeyo ebibasoomoza ensangi zino, nga bangi beeralikiridde lwabisale by’amasomero, okutulugunyizibwa mu maka,sente ezirabirira awaka ezimanyiddwa nga eza akameza ezitakyawera, endwadde nebirala.