Omusumba we Fortportal Robert Akiiki Muhiirwa avumiridde abakurisitu bannampawengwa abagaanye okunyweerera mu ddiini nebettanira ebikolwa bya Kalogo kalenzi, kyokka ku Sunday nebaddukira mu Eklezia okusinza Omutonzi nti bano bakola kikyamu.

Omusumba Muhiirwa era avumiridde ebikolwa ebikyamu ebiva ku ttamiiro erisukkiridde ensanji zino, omuli okukabassanya abaana abawala, obutabanguko mu maka n’emize emikyamu byagambye nti biva ku nsonga ya Uganda kukwaata kifo kisooka mu kuyiisa omwenge mu mawanga g’Obuvanjuba bwa Africa.
Abalamazi oluwulidde kino bakisanyukidde nebakikubira mungalo n’akaluulu, Oluvannyuma omusumba naakabatema nti okutamiira kyabuswavu.
Mu ngeri yeemu Omusumba Muhiirwa avumiridde ebikolwa ebyekko ekikolebwa ku baana abawala, nebatuuka n’okufuna embuto nga bakyali bato, kyokka ng’ababibakola baluganda lwabwe wamu n’abasomesa.
Omusumba w’essaza lye Fort portal Robert Akiiki Muhiirwa ayambiddwako Father JB Kaganda, mu kuyimba ekitambiro kya missa eky’okukuza olunaku lw’abajulizi ku kiggwa ky’abakatuliki e Bulooli Namugongo.
Ssaabasumba Paul Ssemogerere asabye abakkiriza okufaayo ennyo okukola ebikolwa ebyekisa eri abantu bannabwe, n’okunnyikiza okukkiriza kwabwe.
Asaasidde abantu abafiiridde mu lugendo lw’okugenda e Namugongo okulamaga, naabo bonna abafudde ekirwadde kya covid 19, nasabira n’olutalo lwa Russia ne Ukraine lukome.
Obubaka bwa president Museven busomeddwa ssaabaminister Robinah Nabbanja, akubirizA abantu okwongera okulima emmere emala, kwossa na buli muntu okubaako ekintu kyakola omuva e ansimbi.
President Museven akubirizza bannaddiini okukwasizaako government okutumbula empeereza ya parish development model n’emyooga okusitula embeera z’abantu n’okulwanyisa obwavu.
Ku lulwe Nabbanja avumiridde abantu abateekawo ebifo ebisanyukirwamu okwetoloola ebiggwa by’abajulizi, byagambye nti bibuzabuuza abalamazi nebibaggya ku mulamwa, ogubeera gwabatutte e Namugongo.

Ekitambiro kye misa kino kyetabiddwako Omukama wa Tooro Oyo Nyimbba Kabamba Iguru , Ssabaminister wa Uganda Robina Nabbanja Musafiiri, sipiika wa parliament Anita Among.

Ssabalamuzi wa Uganda Alfonse Owinyi Ddolo, eyaliko omumyuuka w’Omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Eng John Baptist Walusimbi, ba minister ba Ssabasajja,abaami b’amasaza,Katuukiro wa Busoga Joseph Muvawala, n’ababaka ba parliament bangi ddala.

Enkumi n’enkumi z’abalamazi abato n’abakulu okuva mu Uganda n’amawanga amalala bakuzizza olunaku lw’abajulizi e Namugongo olukuzibwa buli ngq 03 June, buli mwaka.
Emyaka ebiri egiyise 2020 ne 2021 tewaali kulamaga olw’omuggalo ogwaleetebwa ekirwadde ki Covid 19.
Nga 03 June,2022 abakkiriza bazze mu bungi, libadde ssanyu, kuyimba nakutendereza okukulembeddwamu choir y’essaza lya klezia erye Fortportal era lyerikulembeddemu emikolo gyonna okumala wiiki namba okujjukira abajulizi.
Ab’ebyokwerinda babadde bulindaala nga bagoberera buli ekigenda mu maaso, omuli balubbira bokumazzi n’abasirikale boku ttaka.
Bisakiddwa : Kato Denis
Ebifaananyi: Musa Kirumira