Jjajja w’obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu Mbuga ayagala government eyongere amaanyi mu buvunaanyizibwa bwayo obukulu obw’okukuuma banna Uganda n’ebyabwe.
“Ennaku zino ku TV tutera nnyo okulaba obubbi obw’emmundu nga buzzeemu, e Mityana n’awalala, nga tusaba abalina obuvunanyizibwa ku kukuuma banna Uganda bakikoleko mangu. Bano abalina obuduuka obutambuza ssente bali ku buzibu bungi nnyo, tusaba mube nga mubayamba, tusobole okweyagalira mu ggwanga ffena”Nakibinge
Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu mu ngeri yeemu alaze okutya olw’ekiwamba bantu ekikyase mu ggwanga n’asaba abakwatibwako okwekuba mu kifuba okukozesa obwenkanya n’okuyimbula abantu abo n’okubasonyiwa kubanga ebiseera byebyobufuzi byaggwa.
“Waliwo engeri ennaku zino gyebakwatakwatamu abantu etategeerekeka, nga tusaba nayo mwongere okubeera abeerufu …….mirundi mingi tukibasabye nti ebyaliwo mu kulonda byaggwa ate waliwo okulonda okulala okujja, ffenna eno ye nsi yaffe gyetulina okubeeramu”Nakibinge
Omulangira Nakibinge abadde ku muzikiti e Kibuli ku mukolo gw’okujjukira amadda g’omuzira W’obusiraamu Omulangira Nuuhu Kyabasinga Mbogo ag’omulundi ogwa 128 okuva lweyava mu buwanganguse e Zanzibar.
Supreme Mufti Sheikh Shaban Muhammad Ggalabuzi ayitiddeyitidde mu basiraamu olugendo lweyaliko mu America jjuuzi n’abanjulira n’ebibala byebaalufunamu omwali n’okutongoza obukulembeze mu masaza ag’enjawulo.
Supreme Mufti Sheik Shaban Muhammad Galabuzi ayiseeyise mu lugendo lweyaliko mu America gyebuvuddeko, n’abanjulira n’ebibala byebalufunyeemu omwali okutongoza obukulembeze mu masaza agenjawulo
“Okutambula kwange tekwali kwa busuubuzi, ensonga eyantwala mu America, nsonga ya Busiraamu, era amasaza 4 twavuddeyo nga tutongozza obukulembeze bwaffe”
Supreme Mufti akinoogaanyizza nti obukulembeze bw’e Kibuli kikafuuwe okukolagana ne bannanfuusi bwatyo nasaba abakkiririza mu bukulembeze bw’e Kibuli okunywera n’okulemera ku mulamwa.
Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende yeyamye nti nga munnamateeka era omusiraamu omunywevu siwakussa mukono ku nsonga z’okuyamba n’okulwanirira abantu abaasibwa nga balangwa obusiraamu n’ebyobufizi.
Akulira Ddaawa, Sheikh Dr. Abdul Afiizi Walusimbi alombozze ebimu ku byafaayo bya Omulangira Nuuhu Kyabasinga Mbogo n’ensonga ezaamuwangangusa kyokka n’akomawo nga mugumu era n’asimba ensigo y’Obusiraamu mu Uganda era kati etinta.
Sheikh Dr. Walusimbi asabye abasiraamu okweggyamu okwenyooma, n’agamba nti bakozese omuwendo gwabwe okusomesa abaana Obusiraamu bugundiire.
Omukolo guno gwetabiddwako omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Prof Twaha Kaawaase Kigongo, Loodi Mmeeya Ssaalongo Erias Lukwago, ababaka ba parliament minister wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda n’abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achilleo K