Obubaka bw’okukuza amazaalibwa ga Yesu Kristo ag’omwaka 2024 okwetoloola amasinzizo gonna, essira liteekeddwa ku kukuuma emirembe, okuzzaamu abalala essuubi, okuvumirira obusosoze n’okuwangana ekitiibwa.

Ssabasumba wÉssaza lya klezia ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere yakulembeddemu missa ku lutikko e Lubaga, avumiridde ebikolwa omuli Obulyaake, Ekibba Ttaka ekisukkiridde , Ebbula lyÉmirimu mu bavubuka, okusanyaawo Obutondebwensi nÉkityoboola ddembe lyabuntu ekyeyongedde mu bakwata mmundu eri abantu ba buligyo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naye asabidde mu missa eno, nasaba abantu okwefumiitiriza ku bubakabwa Ssaabasajja Kabaka,era babukozese okwezuula.
Katikkiro alabudde abakulembeze abatawa Nnamulondo kitiibwa nti beesonyiwe Buganda, era naasaba Énkulaakulana mu bantu ba Beene zijjumbirwe , obwavu bufuuke lufumo.
Katikkiro asabye abakulembeze okulwaanyisa Obusosoze nga bawagira enteekateeka eziyambako mu nkulaakulana yÁbantu.
Ku lwa government ya wakati, minister omubeezi owÉbyenjigiriza ebya waggulu Owek John Crizestom Muyingo asabye abazadde okulambika abaana ekisaanidde, omuli nénkozesa yÉmitimbagano ennungi.

Mmisa eno yetabiddwako katikkiro eyawummula Owek Joseph Mulwanyamuli Ssemoogerere, omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu nÓmukyaala, Meeya wa Makindye Haji Ali Kasirye Nganda Mulyannyama, naabantu abalala bangi.
Omulabirizi we Namirembe Moses Banja, bwabadde akulembeddemu okubuulira mu kusaba kwa ssekukkulu mu lutikko ya St Paul e Namirembe,
yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka okufaayo okulwanirira obutonde bwensi naddala okukubiriza abantu okusimba emiti n’okukola Bulungi bwansi eyambyeko okulwanyisa endwadde.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda ssekukkulu agisabidde Namirembe , wamu n’Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Patrick Luwagga Mugumbule, Ssabaganzi Ssalongo Emmanuel Ssekitooleko, n’omulamuzi wa kooti ejulirwamu Justice Eva Luswata Kawuma.
Ssabasumba w’aba Orthodox mu ggwanga Metropolitan Yeronmus Muzeei yakulembeddemu okusaba ku eklesia e Namungoona, alabudde abakulembeze abenjawulo ,okukomya okusiga obukyaayi mu bantu bebakulembera nga agamba nti kino kyandizaalira eggwanga ebitukula gyebujja.
Mu lutikko ya St Phillip ne Andereya e Mukono, omulabirizi we Mukono ow’okutaano, Enos Kitto Kagodo, asinzidde eno naasaba nti ngeggwanga lyetegekera n’okwetaba mu kulonda kwa 2026, abakulembeze naabo abaluubirira okuyingira eby’obukulembeze okwongera okukulembeza emirembe n’obutebenkevu.#