Ebibinja by’abalamazi okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, bituuse ku kiggwa ky’abaminsani abaleeta eddiini y’ekikatoliki mu Uganda, E Kigungu Ntebe, okwetaba ku mikolo gy’okujjukkira omulimu gwabwe.
Fr.Pere Laurdel mapeera ne Br. Delmus Amansi baagoba ku mwalo e Kigungu nga 17 february , 1879 nga bazze okusomesa bannauganda eddiini.
Bannabwe abalala kwaliko Fr.. Leo barbot, ludovico Girault, Fr. Leo Livinhac.
Bano bonna baali mu kibiina kya bannaddiini abewaayo okubunyisa eddiini mu Africa ekya Missionaries of Africa.
Ekibiina kino kyagunjibwawo Fr. Larvigerie mu 1868.#