Omukiro ogukutte enkambi y’abasirikale ku Police ye Ntinda gusaanyizzaawo ebintu byabwe byonna ne offiisi ya police y’ebidduka ne fayiro ezibaddemu zisanyeewo.
Omuliro guno gukutte mu kiro era ng’obuyumbwa bwa police 5 buweddewo.
Kiteeberezebwa nti wandiba nga waliwo omwana abadde ayokya kasasiro, kweguvudde negubuubuuka negukwata ebnyumba.
Luke Oweyisigire amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano ategezeza nti wadde police y’abazinnya mwoto yayanguye okuzikiza omuliro guno obutayongera kusaasaanira nnyumba ndala.#