Obwakabaka bwa Buganda butadde amaanyi ku nsonga y’okuzzaawo ebibira mu Uganda,mu kawefube wokutaasa obutonde bwensi.
Minister wa Buganda avunanyizibwa ku Butonde bwensi, obulimi, ettaka, bulungi bwansi n’ogwegassi Owek. Hajati Mariam Mayanja Nkalubo agambye nti Obuganda bwongedde okukunga abantu okusimba emiti n’okugirambirira, nga kwotadde n’obutonde obulala bwona.
Owek. Mariam Mayanja annyonyodde nti ennono n’obuwangwa bwa Buganda bisinga kutambulira ku butonde bwansi , naddala emiziro gy’ebika.
Agambye nti buli mwami wa mutuba alina okusimbibwa emiti, so nga n’enkola y’okusimba emiti ku mikolo gy’okwanjula nayo ejjumbiddwa nnyo.
Mu nteekateeka eno sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek.Patrick Luwaga Mugumbule, atongozza wiiki y’okwongera okumanyisa abantu ku bukulu bw’obutonde bwensi, emikolo gibadde mu Bulange e Mengo.
Sipiika Luwaga Mugumbule agambye nti singa ebibira tebizzibwawo, n’entobaI okukuumibwa obutiribiri, Uganda ekyali mu kakyabaga k’okulumbibwa ebibanga ebyenjawulo.
Awadde ekyokulabirako eky’olutobazi lwa Lwera olulimwamu omuceere,gwagambye nti eddagala erifuuyira ligwera mu nnyanja, amazzi negakosebwa, ebyennyanja ebirimu n’ebirala.
Sipiika asabye ba Jjaja abataka abakulu abobusolya okwongera okuwabula abazzukulu ku nsonga z’obutondebwensi .
Wabaddewo omusomo ogwenjawulo ogugendereddwamu okubangula abakulembeze mu Buganda ku nteekateeka eno,olwo bajitambuze okutuuka ku bantu bonna naddala eri abavubuka.
Omukubiriza woolukiiko lw’abataka omutaka Augustine Kizito Mutumba yaggaddewo omusomo guno ogukwata ku butondebwensi,nasaba abakulembeze okuwaayo akadde akawera okukubiriza abantu okukuuma obutonde.
Omusomo gwetabiddwamu abakulembeze ku mitendera gyonna omubadde Bajjaja abataka b’obusolya ,abaami abamasaza ,abakulembeze babakyala ,abakulembeze babavubuka abakungu okuva mu government eyawakati nabalala, nga gubadde ku mbuga enkulu eyobwa Kabaka Bulange Mengo .
Nicholas Magala akulira ebyobutondebwensi mu Ministry ya Water ne environment mu government eyawakati, agamba nti kyebagenda okusaako essira nga government kwekuteekesa mu nkola amateeka gonna agateekebwawo okukuuma obutondebwensi mu nkola .
Wiiki y’obutondebwensi yakutambulira kumulamwa ogugambanti Obutondebwensi bwamugaso eri ebitonde.
Buganda era yegasse ku nteekateeka ya government ey’owakati eyatongozeddwa eyitibwa Running Out of Trees (ROOTS),ng’ekigendelerwa kyakusimba emiti obukadde 40M buli mwaka.
Enkola eno yatongozeddwa mu Entebbe Botanical gardens, nga government eyawakati ekolera wamu n’obwakabaka bwa Buganda n’ebitongole ebyenjawulo.
Akulira ekitongole ekivunayizibwa ku butonde bwensi mu ggwanga ekya National Environment Management Authority Dr. Akankwasa Barirega agamba, nti ekigendelerwa ky’akulaba nga mu mwaka 2030 ebibira mu Uganda birina okuba nga bituuka ku bitundu 15% .
Bisakiddwa: Nakato Janefer ne Diana Kibuuka