Obwakabaka bwa Buganda butongozza enteekateeka y’okuziimba zi Ssemaduuka ez’omulembe ezituunda ebikozesebwa mu by’obulimi eby’omulembe ku bbeeyi ensamusaamu kiyambeko okutumbula eby’obulimi n’obwegassi.
Ssemaduuka ono agendereddwamu n’okuwonya abalimi ebintu ebitali ku mutindo ebitundibwa ku katale.
Enteekateeka eno etandikidde mu masaza 4 okuli Mawokota, Buddu Buweekula ne Ssingo.
Obwakabaka bweyama okwongera amaanyi mu kulwanyisa obwavu n’enjala mu bantu ba Buganda okuyita mu by’obulimi nentekateeka endala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter ategezeezza nti obwaavu , obutamanya n’endwadde byabulabe, era nga birina okulwanyisibwa mu bantu bonna bwebaba nga bakugenda mu maaso.
Obubaka buno abutisse omumyukawe asooka Owek Prof Twaha Kawaase Kigongo mu Bulange Mengo, ku mukolo gw’okuteeka Omukono ku mukago wakati w’Obwakabaka ne Stanbic Bank, ogugendereddwamu okuzimba Ssemaduuka w’eby’obulimui mu Masaza egenjawulo abalimi okubifuna nga byamutiindo ate ku bbeeyi eyawaansi.
Owekitiibwa Kawaase yabizizza stanbic Bank olw’okwegatta ku babwakabaka okukulakulanya abantu, era agambye nti mu mukago guno ebibiina by’obweggasi bank yakubawola ensimbi ku magoba amatono ddala.
Minister weby’obulimu, obuvubi n’obweggasi owekitiibwa Hajji Amis Kakomo Mukasa akinoganyizza nti obwakabaka nga bukolagana ne Stanbic Bank bagenda kusooka okuzimba Ssemadduuka z’eby’obulimu mu Masaza okuli Mawokota, Buddu ,Buwekula ne singo
Ssenkulu wa Stanbic Bank Paul Muganwa agambye nti balina ekigendererwa okukulakulanya abantu okuyita mu by’obulimi n’obweggasi.
Ssenkulu wa Bucadef, omukungu Dr Ben Ssekamatte agambye nti bamalilidde okumalawo okusomoza kwebikozesebwa mu bulimi ebiccupule.
Bisakiddwa : Ssebuliba Julius