Obwakabaka bwa Buganda nga bukolera wamu ne police batandise okunoonyereza ku by’okuwambibwa kw’omuwandiisi wa kooti ya Kisekwa ( Kooti y’Obwakabaka ewuliriza ensonga ezikwata ku nnono ya Buganda) Milly Naluwemba.
Kigambibwa nti Naluwemba yawambiddwa ku mudumu gw’emmundu nabuzibwawo abasirikale abaabadde batambulira mu mmotoka kika kya Drone, baamusanze mu kaduuka ke akatunda eby’okunywa akawungeezi nga 29 February,2024 mu Kitunzi Lungujja mu gombolola ye Lubaga mu Kampala
Abatuuze mu kitundu aberabiddeko bagamba nti emmotoka ya Drone eno eyabadde evugibwa ku misinde egyayiriyiri yatuusewo esaawa nga zikunukkiriza okuwera essatu ez’ekiro, nemuvaamu abasajja abaabadde bambadde engoye eza bulijjo nebawandagaza amasasi mu bbanga, ekyaddiridde kukwata Milly Naluwemba nebamussa mu mmotoka nebabulawo naye.
Minister w’ebyamawulire, okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Israel Kazibwe agambye nti bakyetegereza okuzuula ekyawambizza Milly Naluwemba n’okumanya gyakuumibwa.
Wabula Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti ekitongole kya police ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Crime Intelligence kyekyamukutte, era kyamukutte kibayambeko kukunoonyereza okwenjawulo kwekiriko.#