• Latest
  • Trending
  • All
Obwakabaka bwa Buganda bujjukidde emyaka 57 – bukya Magye ga Milton Obote galuumba olubiri lwe Mengo

Obwakabaka bwa Buganda bujjukidde emyaka 57 – bukya Magye ga Milton Obote galuumba olubiri lwe Mengo

May 24, 2023
Cbs@29 – Cbs edduukiridde amaka ga bakateeyamba e Nalukolongo

Cbs@29 – Cbs edduukiridde amaka ga bakateeyamba e Nalukolongo

June 12, 2025
Okusoma embalirira ya Uganda 2025/2026 – ebyenjigiriza, eby’obulamu n’ekikula ky’abantu byebisiinze omutemwa omunene

Okusoma embalirira ya Uganda 2025/2026 – ebyenjigiriza, eby’obulamu n’ekikula ky’abantu byebisiinze omutemwa omunene

June 12, 2025

Ababaka ba parliament 9 baabulidde FDC nebegatta ku PFF

June 12, 2025
Cbs@29 – abakozi ba CBS bakoze bulungi bwansi mu katale k’e Kibuye

Cbs@29 – abakozi ba CBS bakoze bulungi bwansi mu katale k’e Kibuye

June 12, 2025
Ssentebe wa district Kamuli Maxwell Kuwembula afiiridde mu kabenje e Nakifuma

Ssentebe wa district Kamuli Maxwell Kuwembula afiiridde mu kabenje e Nakifuma

June 12, 2025
Butambala eyanjudde ttiimu egenda okuzannya empaka z’amasaza ga Buganda 2025 – omutendesi Hassan Mubiru

Butambala eyanjudde ttiimu egenda okuzannya empaka z’amasaza ga Buganda 2025 – omutendesi Hassan Mubiru

June 12, 2025
Government eyimirizzaamu enkola y’okukuba engassi ey’embagirawo eri abagoba b’ebidduka ku nguudo

Government eyimirizzaamu enkola y’okukuba engassi ey’embagirawo eri abagoba b’ebidduka ku nguudo

June 11, 2025
Buganda ezzizaawo omuti ogw’ebyafaayo – Ssakabaka Muteesa I weyatuula okuyita abazungu okuleeta ebyenjigiriza mu Uganda

NUP eronze obukulembeze bw’ekibiina obuggya – Robert Kyagulanyi Ssentamu azzeemu okulayizibwa ku bwa president ekisanja kya myaka 5

June 11, 2025
Buganda ezzizaawo omuti ogw’ebyafaayo – Ssakabaka Muteesa I weyatuula okuyita abazungu okuleeta ebyenjigiriza mu Uganda

Okusoma embalirira y’eggwanga 2025 /2026 – Police esazeewo okuggala enguudo ezimu e Kololo

June 11, 2025
Katikkiro Mayiga atongozza olukiiko lw’abayizi olukulira kaweefube w’okutaasa obutondebwensi

Katikkiro Mayiga atongozza olukiiko lw’abayizi olukulira kaweefube w’okutaasa obutondebwensi

June 11, 2025
Omwoleso gwa CBS pewosa Trade Fair – gusigaddeko ennaku 5 gutuuke okuva nga 17 – 22 June,2025

Omwoleso gwa CBS pewosa Trade Fair – gusigaddeko ennaku 5 gutuuke okuva nga 17 – 22 June,2025

June 11, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Obwakabaka bwa Buganda bujjukidde emyaka 57 – bukya Magye ga Milton Obote galuumba olubiri lwe Mengo

by Namubiru Juliet
May 24, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Obwakabaka bwa Buganda bujjukidde emyaka 57 – bukya Magye ga Milton Obote galuumba olubiri lwe Mengo
0
SHARES
81
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Giweze emyaka 57 bukyanga magye ga Milton Obote gaalumba Olubiri lwa Kabaka Sir Edward Muteesa II e Mengo negalwezza.

Mu bulumbaganyi buno Kabaka Sir Edward Muteesa II era eyali president w’eggwanga yasobola okusimattuka abalumbaganyi, naawanganguka okutuuka e Bungereza, ekyaleka emitima gyábaganda mu nnyiike.

Obulumbaganyi buno bwaliwo nga  May,1966.

Mu kujjukira olunaku luno, wategekeddwawo okusaba, mu Eklesia ya Orthodox e Namungoona,okukulembeddwamu Metropolitan Yinenimus Muzeeyi.

Avumiridde abakuuma ddembe abakwata emmundu ezigulwa ssente y’omuwi w’omusolo nebazitunuza mu bannansi.

Agambye nti kyennyamiza okulaba ng’emmundu ezigulwa abawi b’omusolo n’ekigendererwa eky’okubakuuma ate zibaddako nezibatemula, kwekusaba abakwatibwako okufuba okumalawo ebikolwa bino.

Bwanamukulu w’ekifo ky’Omutukuvu Nicolas Father Nicolas Bayego, asabye abakulembeze okwetoloola eggwanga lino bayigire ku bikolobero ebyaakolebwa ku Buganda nga 24.5.1966, balekeraawo okwefaako bokka.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Mugumbule nga yakiikiridde Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, agambye nti yadde nga ebikolobero ebyakolebwa Obote ku Bwakabaka byaggwa, tebiyinza kuva ku mitima gy’Abantu kuba byalekako enkovu.

Owek Mugumbule mungeri yeemu asabye abakuuma ddembe okwefumiitirizanga ennyo ku biragiro ebibaweebwa, kubanga bingi biba bikolebwa bannakigwanyizi abenoonyeza ebyabwe n’okwekkusa bokka, so nga bibeera bikosa abalala abatalina musango.

Annyonyodde nti ekikolwa kya Obote okulumba olubiri mu 1966 tekyakoma kukosa Buganda yokka, nti wabula kikosezza ne Uganda yonna kati emyaka 57 miraambirira.

Okusaba kuno kwetabiddwako Katikkiro eyawummula Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere.

Mu ngeri yeemu Ssabawolereza wÓbwakabaka era nga ye minister wa government ez’ebituntu Owek Christopher Bwanika, alabudde abalowooza nti Obwakabaka kintu kyakuzannyirako befumiitirize era bekomeko, kyokka nategeeza nti Buganda bwetebeera ntebenkevu ne Uganda yonna tesobola kutebenkera.

Obulumbaganyi buno yeyali kanaaluzaala eyavaako okuwerebwa kw’obukulembeze obw’ennono mu Uganda yonna okutuuka mu 1993 webwazzibwawo ng’ebintu bingi bidobonkanye mu ggwanga.

Sir Edward Muteesa II n’afiira mu buwanganguse mu 1969.

Nookutuuka kakaano obukulembeze bw’ennono obumu tebuddangamu kutojjera, so nga n’ebyobufuzi nabyo byeyongera oluvannyuma lwa Obote okulagira amagye okulumba olubiri lwa Kabaka e Mengo nga 24 May, 1966.

Bisakiddwa: Kato Denis

Ebifaananyi: Naluyange Kellen

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Cbs@29 – Cbs edduukiridde amaka ga bakateeyamba e Nalukolongo
  • Okusoma embalirira ya Uganda 2025/2026 – ebyenjigiriza, eby’obulamu n’ekikula ky’abantu byebisiinze omutemwa omunene
  • Ababaka ba parliament 9 baabulidde FDC nebegatta ku PFF
  • Cbs@29 – abakozi ba CBS bakoze bulungi bwansi mu katale k’e Kibuye
  • Ssentebe wa district Kamuli Maxwell Kuwembula afiiridde mu kabenje e Nakifuma

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist