Ssemaka Awusha Moses akakkanye ku mukyalawe Awuma Unisi naamutemaatema namutta, bibadde ku kyalo Namagenge mu gombolola ye Mutumba mu district ye Namayingo.
Abatuuze abogeddeko n’omusasi waffe e Busoga Kirabira Fred, bagambye nti baawulidde abafumbo bano nga bayomba ekiro , n’oluvannyuma omukyala naatandika okulaajana nga bba amutematema obulere.
Baagenze okutuukayo baasanze Awuma Unisi ali mu kitaba ky’omusaayi era ng’amaze okufa, ate bba Awusha Moses nga yadduse dda.
Sentebe we kyalo kino Ochandi Charles agambye nti bayise police etandise okunoonyereza ku ttemu lino
Bisakiddwa: Kirabira Fred