Nyende Ayubu wa myaka 35, yaakubye mukyala we Ajambo Florence myaka 23 abadde olubuto olukulu lwa myezi 7 naamutta.
Batuuze b’okukyalo Musumi mu gombolola ye Bukabboli mu district ye Mayuge.
Kigambibwa nti abafumbo bano basoose kuyomba, oluvannyuma lw’omukyala okusaba bba sente agule emmere, wabula omusajja n’atafaayo, kwekumubuuza ekimugaana okugula emmere ewaka kyokka ng’ezigula enjaga gyeyekamirira aziraba.
Wano omusajja waviiridde mu mbeera nakakkana ku mukyala namukiba ensamba ggere nagwa eri, olwo omusajja nadduka.
Abatuuze baggyeewo omukazi nebamuddusa mu ddwaliro lya Kigandaalo Health Center III, bagenze okumutusaayo ng’afudde, saako n’omwana gwebamulongoosezaamu naye basanze yafudde.
Ssentebe w’ekyalo Musumi nga ye Maganda Ezra, avumiridde obutabanguko obusukkiridde mu kitundu, nasaba ab’amateeka okukozesa omukono ogw’ekyuma okukangavvula ababwenyigiramu.
District ye Mayuge yeemu ku district ezizze zogerwako okubaamu Obutabanguko mu maka obusukkiridde, n’abaana abazaala nga tebaneetuuka. #
Bisakiddwa: Kirabira Fred