Obukama bwa Bunyoro butenderezza omusingi okutambuzibwa Ekisaakaate kya Nnaabagereka, nti kikoze ky’amaanyi mu kukyusa obulamu bw’abaana abakyetabamu nebafuuka abantu abensonga mu ggwanga.
Minister avunanyizibwa ku bantu abawangaalira wabweru w`Obukama bwa Bunyoro Owekitinisa Philip Katahoire, bwabadde akulumbeddemu abakungu okuva mu bukama bwa Bunyoro abagenyiwaddeko mu Kisaakaate, agambye nti bingi byebayigidde mu Kisaakaate ebyensonga, era bagala nabo babirabireko era babisse mu nkola.
Ministry avunanyizibwa ku kikula kyábantu mu Bukama bwa Bunyoro Owekitinisa Dinah Kaija Kasangaki, agamba nti ekisinze okumusanyula mu Kisaakaate kwekuba nga tekisosola mu mawanga, era kyetabwamu abaana okuva mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo.
Ekisaakaate kyetabwamu abaana abawala nábalenzi abali wakati wémyaka 6 -18.
Ssenkulu wa Nnabagereka Development Foundation Andrew Adrian Mukiibi, agamba nti abakungu okuva mu bukama bwa Bunyoro okubakyaliraako mu Kisaakaate, agambye nti byebasomesa abasaakaate bikwata ku buli nkula némbeera zábantu ezénjawulo ezibagasa kyebava tebasosola mu baana bebabangula.
Ekisaakaate gatonya kigenda kigenda ku komekerezebwa nga ennaku z`omwezi 26 omwezi guno.