NZE NGA BWENDABA:
Kano katundu akaweerezebwa mu mawulire ga CBS 88.8 ku ssaawa ssatu buli monday ne Friday.
Waliwo Omubaka wa Parliament owa district ye Buvuma Susan Nakaziba Mugabi akyanyiga biwuundu, oluvanyuma lw’abasirikale ba police okumufuuyira kamulali mu maaso n’okumulinnya ensambaggere wiiki ewedde mu kavuyo k’okuyimiriza emikolo gyeyabadde ategese okukuza olunaku lw’abakyala e Buvuma.
Omukolo ogwabadde ogw’okuyindira e Kyanja mu gombolola ye Bwema mu bizinga bye Buvuma, gwagweredde ku mubaka ng’addusiddwa mu ddwaliro nga n’okulaba takyalaba.
Guno si gwemulundi ogusoose ng’ababaka abakyala balemesebwa okutegeka omukolo gw’olunaku lw’abakyala; omwezi oguwedde Omubaka wa Parliament Omukyala e Mityana Joyce Baagala Ntwatwa naye yayisibwa mu mbeera yeemu.
Tukuleetedde omumyuka w’omubaka wa Government atuula e Buvuma Partrick Mubiru ayanukudde ekyaviiriddeko ab’ebyokwerinda okulemesa enteekateeka z’omubaka Nakaziba nebatuuka n’okumukuba, bimubuuziddwa Yozefu Lukyamuzi.
Yozefu Lukyamuzi: Embeera eno yavudde ku ki?
Patrick Mubiru: Omukolo gw’okubizinga gutwala ebbanga nga gutegekebwa bweguba gwakubaawo kyokka ye Nakaziba yagutegekera mu nnaku bbiri ku ssatu kyokka nga waaliwo okusoomozebwa kw’okutya abantu okufiira mu maazzi ku bubaga nga obwo.
Yozefu Lukyamuzi: Anti bwaba yagutegeka bubi abantu nebatalabikako era yaba asalwa.
Patrick Mubiru: Kituufu asalwa naye omukolo nga ogwo ogw’ebyobufuzi omubaka aba alina okusooka okufuna olukusa olwo omukolo gubeeere mu mateeka
Yozefu Lukyamuzi: Nebwaba tasabye era kibeera eri ye.
Patrick Mubiru: Kituufu ekibaawo kyonna kiba kiddira ye.
Yozefu Lukyamuzi: Kati okukubwa kwe okuteeka ku ye?
Patrick Mubiru: Abasirikale bantegeezezza nti tewali kubbo yamukubye, nti kubanga webaakubira tear gas yabali walako era tewali yamukuba.
Yozefu Lukyamuzi: Mu bufunze ogamba nti yeekoza?
Patrick Mubiru:Teri musirikale yakubye mubaka, wadde nga wayinza okuvaayo akatambi akalaga ekyo.
Yozefu Lukyamuzi: Naye ensonga y’okulemesa olukungaana lw’omubaka yabadde yabwenkanya? kubanga olunaku lwabadde lwa Eid!
Patrick Mubiru: Omubaka wa Parliament aba amanyi bulungi emitendera gyokutegeka olunaku lwa bakyala.
Yozefu Lukyamuzi: Naye RDC, olunaku luno balutegeka batya kubanga n’omubaka we Mityana Joyce Bagala naye bamukyankalanya bwebatyo.
Patrick Mubiru: Akabaga k’olunaku lwa bakyala bwe kategekebwa eggwanga tewaba buzibu, naye bwekategekebwa omubaka ku district tekiba kutuufu kubanga kirabika nga olukungaana lw’ebyobufuzi. Enkola entuufu yandibadde district kutegeka olwo n’eyita omubaka nga omugenyi omukulu.
Yozefu Lukyamuzi: Kibaamu buzibu ki okutegeka olunaku lw’abakyala nga lwabyabufuzi.
Patrick Mubiru:Anti eba National day terubaako nnyinirwo nga bwolaba nti lutegekebwa egwanga lyonna.
N’ekirala omukolo tekwabaddeko byakulya na byakunwa ekiraga nti gwabadde gusaziddwamu.
Yozefu Lukyamuzi: RDC, omukolo teguba gwa byakulya na tent byokka. Omukolo gwemulamwa ogugenda okwogerwako nensonga endala
Patrick Mubiru:Ssebo omukolo gwonna ogutaliiko byakulya na byakunywa eyo eba campaign ate ebiseera bye tulimu si bya campaign.
Yozefu Lukyamuzi: Naye RDC amawulire gwe togalaba nga abantu bakola campaign z’ebyobufuzi?
Patrick Mubiru:Amawulire ngalaba naye buno obudde sibwakukola campaign.
Ebyo nga biri bityo, police eyimirizza abasirikale baayo 11 abaalabikidde mu butambi nga bakuba omubaka Susan Mugabi ne banne abalala abaakwatiddwa nebaggalirwa.
Biwandiikiddwa: Naluyange Kellen