Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya NUP kalangirdde munnamateeka Luyimbaazi Nalukoola okukwatira ekibiina kino bendera, mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa parliament owa Kawempe North.
Mercy Walukamba ssentebe w’akakiiko ke by’okulonda mu NUP yamulangiridde.
Omukolo gubadde ku kitebe kya NUP e Kavule Makerere.
Olubadde okulangirira, Moses Nsereko omu ku babadde bavuganya naagwa eri n’asambagala, ng’agamba nti yandibadde awebwa kaadi eno.#