Abamu ku Banakibiina ki National Unity Platform bafunye ku buwerero ekibiina bwekibawadde kaadi okuvuganya ku bifo by’Ababaka ba Parliament mu kalulu akajja aka 2026, wabula abalala batabuse nga bagamba nti tebafunye bwenkanya.
Mu kiro ekikesezza olwaleero nga 14 October,2025 akakiiko k’ebyokulonda mu Nup kazeemu okufulumya olukalala olwenkomeredde ku bagenda okukwatira ekibiina bendera ku bifo by’ababaka ba Parliament okwetoloola eggwanga.
Mukusooka Nup bweyafulumya olukalala waliwo okwemulugunya okuva mwabo abataamatira nangaba ya kaadi era abawera batwala okwemulugunya mu kakiiko akatekebwawo ekibiina okugonjoola enkaayana.
Omubaka omukyala owa District ye Mpigi Teddy Nambooze nga kaadi emudiziddwa oluvanyuma lw’ebbanga nga bekeneenya omutufu owokugiwa, asabye bana Mpigi okumwegatakko balwanirire emiramwa gya National Unity Platform omuli n’okukyuusa obukulembeze bw’eggwanga.
Alex Kalinzi Ntamu ng’awereddwa okukwatira Nup bendera mu Bukoto Central, wabula mu kusooka ekibiina kyaali kiwadde Jamill Kivumbi, agambye nti wakulwana bwezizingirire Nup okufuna obuwagizi mu kitundu ekyo.
Wabula David Musiri eyasaba kaadi ye Makindye West, naye neweebwa Zahara Luyirika, agamba nti ekifo Luyirika yali yasaba kya mubaka mukyala owa Kampala, nti naye yewuunya enkola y’ekibiina gyagambye nti ejjudde obukuusa era temuwadde bwenkanya, olw’okusalawo nga tebamuwulirizza.
David Musiri agambye nti okuva lweyasaayo okwemulugunya kwe eri akakiiko, tayitibwangako kwenyonyolako, ebyasaliddwawo yabirabye ku soso media.
Allan Ssewanyana omubaka wa Makindye West nga naye abadde alinze ebinaava mu kakiiko Ako kekamu, agambye nti naye omusango agenze kuguloopa eri bannamakindye West bebaba bagusala kubanga bebalina obuyinza obusalawo.
Kaadi ya Mityana South yali ewereddwa Kintu Fred era Ono omukelembeze w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu gweyalaga eri abalonzi lweyali akuyega e Mityana wiiki ewedde, wabula kaadi emujjiddwako neweebwa omuntu omulala Kevin Nalwoga.
Kivumbi Jimiru eyali awereddwa kaadi ya Bukoto Central mu district ye Lwengo emuggyiddwako, neweebwa Alex Ntamu.
Nsereko Christopher Kayongo Engagga eyali awereddwa kaadi ya Bukomansimbi North emuggyiddwako neddizibwa Christine Nandagire Ndiwalana omubaka aliyo Kati.
Sheilah Amaniyo aweereddwa kaadi y’omubaka omukyala owa district ye Mukono, ate omubaka aliyo Kati Hanifah Nabukeera emuggyiddwako.#