Ttabamiruka w’ekibiina kya National Unity Platform atudde n’alonda abakulembeze abagya eb’ekibiina kino abagenda okukikulembera emyaka etaano egijja, president w’ekibiina abaddeko Robert Kyagulanyi Ssentamu bamwongedde ekisanja.
Ttabamiruka ono yatandise ku saawa 3 ez’okumakya akutuuka obudde okuziba, nga bannamawulire bakonkomalidde ku mulyango oguyingira abalonzi gyebabadde ku kitebe kya NUP leadership training centre e Kamwokya.
Robert Kyagulanyi Ssentamu asigadde yemukulembeze w’ekibiina kino,Ssabawandiisi asigadde ye David Lewis Rubongoya,Ow’ebyensimbi Benjamin Katana,Omwogezi ye Joel Ssenyonyi nabalala.
Omubaka Frank Kabuye alondeddwa okukulira abavubuka ,azze mu bigere by’omubaka Francis Zaake Butebi,Fred Nyanzi Ssentamu asuulidwa ku kya ssabakunzi w’ekibiina ne balonze Habib Buwembo nga ssabakunzi wa NUP omuggya.
Mu Ttabamiruka ono ekibiina kya NUP kifulumizza ekiwandiiko ekyemulugunya olw’ebitongole by’ebyokwerinda okubakolako effujjo n’okubalemesa enkuηaana zabwe omuli n’okulumbanga ekitebe kyabwe.
Omwogezi wa NUP era akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi agambye nti ttabamiruka ono ayisizza ekiteeso ekyokuwandiikira ebitongole by’ebyokwerinda ku nsonga eno.
Omukulembeze w’ekibiina kya NUP omulonde Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine bw’aabadde ayogerako eri abakiise mu Ttabamiruka oluvannyuma lw’okulayizibwa ku kisanja ekiggya, yekokkodde efujjo ly’abakuuma ddembe ly’agambye nti lisusse omuli n’okukubanga amasasi mu bantu babwe.
Agambye nti waliwo nAababadde bagala okuyiwa ttabamiruka wabwe, kyokka nga naye awedde mirembe.
Mungeri yemu yebaziza abetabye mu kulonda kuno obutalwanagana nga bwegulabikira mu bibiina ebirala nga balonda obukulembeze bwabwe
Abantu 127 okusinziira ku ssemateeka w’ekibiina kino bebakirizibwa okwenyigira mu kalulu kano akokukyuusa obukulembeze bwa NUP.