![](https://blog.cbsfm.ug/wp-content/uploads/2021/11/two-years-on-uganda-activists-seek-justice-for-kasese-killings.jpg)
Omukulembeze we kibiina Kya NUP Robert Kyagulanyi ssentamu amanyiddwa nga Bobi wine agambye nti kikwasa ennaku nti abantu be Kasese n’okutuusa kati emyaka etaano giweze tebafunanga bwenkanya, ate ng’abantu abandibubawadde ate bebabaatusaako ebikolobero.
Kyagulanyi okwogera bino abadde ku kitebe kya NUP e Kamwokya mu kujjukira emyaka 5 bukyanga abantu abasukka mu 100 battibwa e Kasese nga 26 ne 27 mu mwaka gwa 2016, abalala nebasibwa mu makomera okuli n’Omusinga Charles Wesley Mumbere
Agambye nti n’okutuusa kati abenganda zabwe tebafunanga bwenkanya nabandi nga bakyali mu makomera, ne alipoota ezikwata ku byaliwo tezifulumizibwa mu lujudde.
Kyagulanyi mungeri yemu agambye nti embeera y’emu y’ekwata ne ku kitta bantu ekyaliwo omwaka oguwedde 2020. N’ategeeza nti ng’ekibiina kya NUP bataddewo akakiiko ake kyama akatandiise okunonyereza ku kitta Bantu ekyaliwo mu November w’o mwaka ogwo omwafiira abantu abasuka 50 era abaali emabega we ttemu lino bagenda kutwalibwa mu kooti ye nsi yonna.
Kyagunayi Ssentamu Bobi Wine agugumbudde banne ku ludda oluvuganya gavumenti abalemedde mu ntalo ezawulayawulamu ebibiina byabwe, agambye nti bano bandiba nga balina ebigendererwa byabwe ng’abantu sso ssi kugasa bannauganda bonna.
Kyagulanyi abadde ku mukolo gwe gumu ng’ayaniriza banna byabufuzi abasukka mu 50 okuva e Kasese abasazeewo okusala eddiiro nebegatta ku kibiina kya NUP, nga bagamba nti osanga ekibiina kino kyekigenda okununula eggwanga lino.
Abasaze ebiiro bavudde mu bibiina ebyenjawulo oli FDC ,NRM n’ebibiina ebirala ,wabula kyagulanyi mu kwaniriza abantu bano agambye nti ebibiina byóbufuzi ku ludda oluvuganya gavumenti bisuse okulumbagana nebyeygerera amafuukuule kyagambye nti kiwa omulabe omwagaanya okubayingirira.
Kyagulanyi mungeri yemu awadde abegase ku kibiina kino amagezi okubera abegendereza ennyo, nti kubanga ekibiina kyabwe kiwambibwamu abantu buli olukya,era nabasaba okulemera ku mazima.
Abasaze ediiro nga bakulembeddwamu eyali omubaka wa Busongola North County Jackson Mbajo bagambye nti kyebetaaga ye nkyukakyuuka mu ggwanga.

Abasaze ediiro nga bakulembeddwamu eyali omubaka wa Busongola North County Jackson Mbajo bagambye nti kyebetaaga ye nkyukakyuka mu ggwanga.