President wa NUP Robert Kyagulanyi Sentamu anennyezza bannakibiina abalemeddwa okunywerera miramwa gy’ekibiina, nebadda mu kwerumaaluma.
Kyagulanyi asiinzidde mu kibuga Jinja ku mukolo ogw’okutongoza abavudde mu bibiina by’obufuzi ebirala nebegatta ku NUP abasobye mu 80 n’okutongoza wofiisi y’ekibiina mu kitundu kya Busoga.
Abasaze eddiiro bakulembeddwamu eyaliko omubaka wa Jinja South East Paul Mwiru avudde mu Alliance for National Transformation.
Akulira okutendeka n’okukunga ba memba mu NUP Omusumba Andrew Muwanguzi agambye nti ekibadde e Busoga kabonero akooleka nti NUP egenda kuddamu okumegga NRM mu kalulu ka 2026,singa akalulu kabeera kamazima na bwenkanya.
Bisakiddwa: Kirabira Fred