NRM eyimirizza kakuyege yenna abadde agenda mu maaso mu district ye Ssembabule, ow’okunoonya akalulu k’akamyufu akabindabinda, olw’entalo ezisusse mu kitundu ekyo, nga zaafiriddemu omuntu.
Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda aka NRM Dr.Tanga Odoi agambye nti bagenda kusooka kutuuza enjuyi zonna ezivuganya, basalire amagezi obutabanguko obususse e Ssembabule.
Nga 26 June, 2025 abasirikale abakuuma omu ku bavuganya ku kifo ky’omubaka wa Lwemiyaga, baakuba amasasi n’okumpi awaali olukuηηaana lwa Theodore Ssekikubo, erimu nerimukwasa olugala, nerikwata n’omuwagizi we mu kifuba nerimuttirawo.
Bisakiddwa: Betty Zziwa