Namunkanga y’amagye ga UPDF eremereddwa n’egwa ku kyalo Nadiket kilometre nga ttaano okuva ku nkambi y’amagye mu district ye Moroto.
Nnamunkanga egudde eri MI 24 NO.AF 822 ebaddemu abantu 4 era bonna bavuddemu nga tebafunye buvune.
Omwogezi wa UPDF Brig.Gen.Felix Kulayigye agambye nti batandise okunoonyereza ku kivuddeko obuzibu, wabula n’asaba abantu abaliraanye ekifo ewagudde Nnamunkanga eno okwewala okugisemberera. #