Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye government ekole ekisoboka okusaawo enkola ezísobozesa abakyala okufuna obujanjabi n’empeereza endala mu byobulamu ku bbeeyi eyawansi.
Nabagereka abadde aggulawo ttabamiruka w’abakyala ba Buganda mu Lubiri e Mengo.
Ttabamiruka w’omwaka guno atambulidde ku mulamwa ogugamba nti omukyala omulamu gwe musingi gw’enkulakulana eyannamaddala.
Nnaabagereka agambye nti okuyamba abakyala okubeera mu mbeera ennungi nókubeera abalamu kyakwongera ku nkulaakulana y’eggwanga , naabasaba nabo okulwana okulya obulungi, okulabirira nókuliisa abaana obulungi.
Nabagereka mungeri yeemu akubirizza abazadde okuzzaamu amaanyi abaana abaafuna embuto mu muggalo gwa Covid 19, baddeyo basome.
Mu ngeri yeemu Nnaabagereka asabye abakyaala okulwanyisa Obwavu nga beenyigira mu bibiina by’obweegassi, násaba nábaami okukolagana obulungi n’abakyala babwe, bateekereteekere amaka nga bazaala abaana abasaanye, kiyambeko mu kukendeeza endwadde
Ssaabaminister w’eggwanga Robinah Nabbanja Musaafiiri yebazizza Nnaabagereka olw’okusitula embeera z’abakyala, n’abaana abato okuyita mu Kisaakaate n’emirimu emirala mingi.
Ssaabaminister akubirizza abakyala obutenyooma olw’ekikula kyabwe, benyigire mu mirimu egyenjawulo n’obukulembeze.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Prof. Twaha Kawaase agambye nti Obwakabaka bwa Buganda butaddewo enteekateeka nnyini ezigenderera okusitula embeera z’abakyala, omuli okwenyigira mu Mmwanyi terimba,n’emisomo gyenkulankulana egyenjawulo.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry yébyóbulamu Dr. Diana Atwine, naye yoomu ku basomesezza abakyala ku nsonga zébyóbulamu.
Dr.Atwiine agambye nti ekyábyakala okuzaalira okumukumu kikyali kizibu mu Uganda ne mu ssemazinga wa Africa, nga kikosezza abakyala bangi mu byóbulamu n’embeera zabwe endala.
Dr Atwiine mungeri eyenjawulo yeebazizza Obwakabaka okulambikanga abakyala ku makulu agali mu kuzaalira mu malwaaliro agalimu abakugu, ekikendeezezza omuwendo gw’abakyala abafa nga bazaala mu ggwanga, n’Okukendeeza omuwendo gwabaana ababadde bafa nga bazaalibwa.
Simon Ssenkaayi bwabadde asomesa ku kwezuula eri abakyaala, abasabye okulwaanirira obwenkanya yonna gyebali, mu kifo ky’Okulwanirira omwenkanonkano, gw’agambye nti gwegusinze okuvaako obuzibu nókwongera okulinnyirira eddembe lyábakyala.