Nnaabagereka Sylvia Nagginda, awabudde abakulembeze b’ennono, bannadiini, ne banna byabufuzi okwongera amaanyi okulwanyisa emize ejiviirako abaana okufuna embuto nga bakyali bato, Uganda bweba yakulwanyisa omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda, okwogera bino abadde ku Speke Resort e Munyonyo mu lukuηaana lwabakwatibwako ensonga, nga bakubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okwongera okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya mu Uganda.
Nnaabagereka nga yaabadde omwogezi owenjawulo mu lukuηaana luno, agambye nti abaana abato bafunisibwa embuto, abakwatibwako ensonga obutakola kimala buvunanyizibwa bwabwe, bannadiini okusirika ekisusse.
Agambye nti waliwo n’obuwangwa obulina okwekennenyezebwa nga bulemesa abakyala abalina embuto okugenda mu malwaliro okunywa eddagala, ebyentambula ebiremesa abakyala okutuula mu malwaliro agalimu abakumu, bye bimu kubirina okussibwako essira okukendeeza embeera eno.
Agambye nti abaana okuzaala nga tebaneetuka, balwala endwadde ng’okutonya, okuvaamu omusaayi omungi, sso nga naabamu tebagenda mu malwaliro olwokutya okuvunanibwa mu mateeka, n’okukweka embuto nebatanywa ddagala lyetaagisa ku buli mutendera gw’olubuto.

Ebiwandiiko biraga nti newankubadde omuwendo gwabakyala abafiira mu ssanya gukendeddeko okuva ku bakyala 334 okudda ku bakyala 189 ku buli bakyala emitwalo 10 abazaala, ekiruubirwa ekiriwo kyekyokulaba ng’omuwendo gwongera okukendeera, waakiri ku bakyala 70 bokka buli mwaka kwabo abakyala emitwalo 10 abazaala.
Ebiwandiiko era biraga nti n’omuwendo gw’abaana abafiira mu ssanya gwakendeeramu okuva ku baana 29 ku buli baana 1,000 abazaalibwa okudda ku baana 28 ku buli baana 1000 abazaalibwa, naye omuwendo guno gukyali waggulu nnyo.
Avunanyizibwa ku kusomesa abantu ku kwewala endwadde mu ministry yeebyobulamu, Dr Richard Kabanda, ku lwa minister weebyobulamu, Dr Jane Ruth Aceng, agambye nti baluubirira n’okwekubamu tooci ku byebatuuseko mu mwaka omulamba, okuwongera okutereeza eby’obulamu bw’abakyala.
Dr. Richard Mugahi, avunanyizibwa ku kusomesa abantu ku byokuzaala mu ministry yeebyobulamu agambye nti bakizudde ng’embeera yaabakyala abasinga okufiira mu ssanya, basangibwa mu Kampala, era ng’ebizibu ebisinga okubatta kuba kuvaamu musaayi omungi, n’obutaba nansimbi zimala okusasula ebisale byamalwaliro.
Bisakiddwa: Ddungu Davis












