Abakristu mu nsi yonna batandise ekisiibo ky’omwaka guno 2025, nga kitandika n’akabonero ak’okusiiga evvu mu kyenyi.
Ekiseera ky’ekisiibo kyakwezza buggya mu kukkiriza ne mu nneeyisa, n’okuyamba abalala abeetaaga okubeerwa.

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Bishop Paul Ssemogerere asinzidde mu lutikko e Lubaga mu Mmisa ey’okusiiga evvu, n’asaba abakristu ne bannauganda bonna okuwanjagira Katonda, nga bwebasabira ababaka ba parliament ya Uganda okutegeera obuvunaanyibwa bwabwe
obw’okuteeseza banna Uganda bonna.

Ssaabasumba Ssemogerere agambye nti ekisiibo ky’abakatuliki n’abasiraamu kituukidde mu kiseera kye kimu, n’abasaba okussa eggwanga mu ssaala.
Ssaabasumba agambye nti enkola y’emirimu mu Uganda buli olukya yeyongera okudobonkana, nga yetaaga essaala eyenjawulo obuweereza bukyuke buleme kutunuulira bantu ab’olubatu, wabula bubeere bwa bannauganda bonna.#