Olutuula lw’akakiiko akafuzi akookuntikko ak’ekibiina kya FDC olwa National Council lutandise ku ssaawa mukaaga n’ekitundu (12:30pm) ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi, wabula abamu ku ba memba bagaaniddwa okuyingira.
Olutuula lukubiriziddwa ssentebe Wassqa Biriggwa, wadde nga lweyasemba okugendayo naye yali asibiddwa ebweru, era yamala akaseera ng’awambiddwa nga n’okufuluma ekitebe yalinnya ddaala naawalampa ekikomera.
Biriggwa agambye nti balina okutaasa ekibiina n’asaba ba memba okukkakkana.
Abamu ku bagaaniddwa okuyingira kwekuli omumyuka wa president wa FDC atwala ekitundu kya Buganda Erias Lukwago.
Olutuula nga terunatandika wabaddewo vaawo mpitewo wakati wa bakanyama abagambibwa okuba nti baapangisiddwa okugaana abamu ku bannakibiina okuyingira, nebatuuka n’okwekuba emiggo n’amayinja.
Omu ku bamemba b’akakiiko Salaam Musumba avumiridde eky’okuyiwa ba kanyama ku kitebe abagambibwa okupangisibwa president w’ekibiina Patrick Amuriat ne Ssaabawandiisi Nandala Mafaabi.
“Ekiri wano kyenyamiza, abantu bendaba wano sibamanyi era sibalabangako wadde mu mirimu gy’ekibiina, neneyisa yabwe yewunyiisa.
Naye ffe kyetwagala gy’emirembe kubanga ekibiina kino twakitandika era tukizimbidde ku byaffe byonna” – Salaamu Musumba
Endooliito mu FDC zaabaluseewo oluvannyuma lw’abamu ku ba memba abakulembeddwamu Ssemuju Nganda omwogezi w’ekibiina ne Erias Lukwago omumyuka wa president atwala ekitundu kya Buganda n’abalala okulumiriza president wabwe Patrick Amuriat ne ssaabawandiisi Nandala Mafaabi okufuna ensimbi okuba mu NRM n’emigendererwa ekitunda ekibiina kyavwe.#