Obwakabaka bwa Buganda bukubagizza abantu abafiriddwa abantu babwe, omuti gwa Nakayima e Mubende bweguwaguseeko ettabi ne likubba abantu ababaddewo.
Omuti guno gusaangibwa mu West division Mubende municipality.
Abantu 12 bebakubiddwa omuti, 4 bafiiriddewo ate abalala 8 baddusiddwa mu ddwaliro lya Mubende Regional Referral hospital.
Omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda Owek. Israel Kazibwe yatusizza okusasiira kw’Obwakabaka eri family za bantu bonna abakoseddwa enjega eno.
Abakubiddwa omuti be bamu ku bantu ababadde bakungaanidde ku muti guno ogwa Nakayima okukolerawo emikolo gy’obuwangwa.#