Essiga lya Kampala Capital City Authority ery’ekikugu liwanjagidde linnaalyo ely’ebyobufuzi erikulemberwa loodi mmeeya okubayambako okutereeza mu tteeka mwebayinza okuyita okusolooza omusolo mu bannaKampala.
Minister omubeezi owa Kampala Kyofatogabye Kabuye agambye nti nga KCCA bafiirwa ensimbi nnyingi okw’okubulwa etteeka mwebayinza okuyita okusolooza emisolo egimu.
Wabula Kyofa, agambye nti bamalirizza enteekateeka z’okusolooza abagoba ba Taxi abakolera mu Kampala, ng’abakolera mu kibuga munda bakusaaula 720,000/- ate ebweru bakusasula 850,000/-.
Ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka asabye bakansala abatuuka ku kakiiko akasolooza omusolo okubayambako ku nsonga eno.
Babadde Ntebbe ku Imperial Resort Hotel mu musomo gw’okubangula ba kkasanla abatuula ku bukiiko bwa KCCA obw’ebyensimbi ku ntambuza y’emirimu.