Ssetendekero w’Obwakabaka owa Muteesa I Royal University, mu butongole akakasiddwa okuvuganya mu mpaka z’omupiira ogw’ebigere eza matendekero agawaggulu, eza Pepsi University Football League season ya 2024/25.
Muteesa 1 Royal University ebadde tevuganyangako mu mpaka zino okuva lwa zatandika mu 2012, era obululu obw’ebibinja obwa season ya 2024/25 bukwatiddwa olwaleero e Lugogo mu Kampala.
Muteesa 1 Royal University akalulu kagisudde mu kibinja F ne MUBS wamu ne Mbarara University of Science and Technology.
Empaka zino zigenda kwetabwamu ttiimu za University 23, era bannantameggwa ba season ewedde aba Nkumba University babatadde mu kibinja A ne Busitema University, IUIU ne ISBAT University n’ebibinja ebirala.
Empaka zino zigenda kutandika nga 17 September,2024, Uganda Christian University y’egenda okuggulawo ng’ettunka ne ttiimu endala egenda okulangirirwa mu bwangu ddala mu kibinja C.
Nkumba University eyawangula empaka eziwedde, era y’ebadde erina okuggulawo kyokka mu kadde ako ejja kuba mu mpaka za Africa University Championships e Nigeria mu kibuga Lagos.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe