Munnamateeka Eron Kiiza, asindikiddwa mu kkomera e Kitalya yebakeyo emyezi 9, ng’akaligiddwa ssentebe wa kooti y’amagye e Makindye Robert Mugabe Freeman.
Eron Kiiza yoomu ku bannamateeka ababadde bagenze okuwolereza munnaFDC ekiwayi kye Katonga, Rtd.Col.Dr.Kiiza Besigye ne Hajji Obed Lutale Kamulegeya mu kooti eno, abawerennemba n’emisango gu’okusangibwa n’emmundu e Kenya.
Bavunaanibwa n’okugezaako okutabangula eggwanga, ku bigambibwa ngi baatuzaanga enkiiko ez’enjawulo mu Switzerland, Greece ne Kenya ku nteekateeka eno.#