Abaddusi bannauganda 2 okuli Winnie Nanyondo ne Peruth Chemutai Uganda betunuulidde olwaleero nga 7 August,2024 okugaziya emikisa gyayo egy’okuwangula emidaali mu mpaka z’ensi yonna eza Olympics eziyindira mu kibuga Paris ekya Bufalansa.
Omuddusi Winnie Nanyondo agenda kujja mu kisaawe ku saawa 5 n’edakiika 5 ez’okumakya, nga agenda kudduka emisinde gya mita 1500 egy’okusunsulamu ku mutendera ogusooka.
Mungeri yeemu Peruth Chemutai agenda kuyingira ekisaawe kusaawa 4 n’edakiika 14 ez’ekiro okudduka emisinde egyakamalirizo egye 3000 mu steeplechase.
Uganda mu mpaka za Olympics eziyindira e Bufalansa yakawangula omudaali gumu nga gwa zzaabu ogwa Joshua Cheptegei mu misinde gya mita omutwalo gumu.
Joshua Cheptegei yalangiridde nti tagenda kuvuganya mu misinde gya mita 5000, so nga yazifunamu omudaali gwa Zzaabu mu mpaka za Olympics ezaali e Japan mu 2021.
Webukeredde olwaleero nga America yesinga emidaali emingi 79 nga kuliko egya zaabu 21 ate nga China yakubiri n’emidaali 53 nga kuliko egya zaabu 21.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe